Esther 5:11 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era n’abeewaanirako ekitiibwa n’obugagga bwe, bwe byenkana obungi, n’abaana be bwe benkana obungi, n’ebitiibwa byonna Kabaka bye yamuwa, ate ne bwe yakuzibwa okusinga abakungu ba Kabaka n’abaana be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kamani n'ababuulira ekitiibwa ky'obugagga bwe, n'abaana be bwe byenkana obungi, n'ebigambo byonna kabaka mwe yamukuliza, era bwe yamukuza okusinga abakungu ba kabaka n'abaddu be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Hamani n'abeenyumiririzaako olw'obugagga bwe, n'abaana ab'obulenzi b'alina, n'engeri kabaka gye yali amukuzizzaamu, okumuwa ekifo ekikulu, ekimufudde omuntu omukulu okusinga abakungu abalala bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Kamani n'ababuulira ekitiibwa ky'obugagga bwe, n'abaana be bwe benkana obungi, n'ebigambo byonna kabaka mwe yamukuliza, era bwe yamukuza okusinga abakungu ba kabaka n'abaddu be.