Esther 5:12 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ate si ekyo kyokka,” Kamani n’ayongerako na kino nti, “Nnabagereka Eseza teyaganyizza muntu mulala n’omu kuwerekera Kabaka ku mbaga gye yategese, wabula nze; era n’enkya ampise ŋŋende wamu ne Kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Kamani n'ayogera nti, “Weewaawo, ne Nnaabagereka Eseza teyaganya muntu yenna kuyingira wamu ne kabaka ku embaga gye yali afumbye wabula nze; era n'enkya ampise wamu ne kabaka
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne yeeyongera okubagamba nti: “N'ekisinga byonna, kwe kulaba nga Nnaabagereka Esiteeri, yayise nze nzekka okugenda ne kabaka ku kijjulo kye yafumbye. Era n'enkya ampise wamu ne kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Kamani n'ayogera nti Weewaawo, Eseza kaddulubaale teyaganya muntu yenna kuyingira wamu ne kabaka eri embaga gye yali afumbye wabula nze; era n'enkya ampise wamu ne kabaka.