Esther 5:14 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo mukazi we Zeresi ne mikwano gye gyonna ne bamugamba nti, “Bazimbe akalabba obuwanvu bwako, mita amakumi abiri mu ssatu, enkya bw’onooyogera ne Kabaka, Moluddekaayi anaawanikibwa okwo, kale olyoke ogende ku mbaga ne Kabaka ng’oli musanyufu.” Ekirowoozo ekyo kyasanyusa nnyo Kamani, era akalabba ne kazimbibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Zeresi mukazi we ne mikwano gye bonna ne bamugamba nti, “Basimbe ekitindiro obuwanvu bwakyo emikono ataano (50), enkya oyogere ne kabaka okuwanika Moluddekaayi okwo; kale olyoke oyingire ne kabaka ku embaga ng'osanyuka.” Ekigambo ekyo ne kisanyusa Kamani; n'azimbisa ekitindiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukyala we Zeresi ne mikwano gye bonna ne bamuwa amagezi nga bagamba nti: “Zimbisa akalabba ka mita amakumi abiri mu bbiri n'ekitundu obugulumivu, enkya ku makya osabe kabaka, Moruddekaayi awanikibweko afe, olwo osobole okugenda ku kijjulo ne kabaka ng'oli musanyufu.” Hamani n'alowooza nti ago gaali magezi malungi. Bw'atyo n'azimbisa akalabba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Zeresi mukazi we ne mikwano gye bonna ne bamugamba nti Basimbe ekitindiro obuwanvu bwakyo emikono amakumi ataano, enkya oyogere ne kabaka okuwanika Moluddekaayi okwo: kale olyoke oyingire ne kabaka eri embaga ng'osanyuka Ekigambo ekyo ne kisanyusa Kamani; n'asimbya ekitindiro.