Esther 5:2 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka bwe yalengera Nnabagereka Eseza ng’ayimiridde mu luggya, n’aganja mu maaso ge era n’amugololera omuggo ogwa zaabu ogwali mu mukono gwe. Awo Eseza n’asembera n’akoma ku musa gw’omuggo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka kabaka bwe yalaba Eseza kaddulubaale ng'ayimiridde mu luggya, kale n'aganja mu maaso ge, kabaka n'agololera Eseza omuggo ogwa zaabu ogwali mu mukono gwe. Awo Eseza n'asembera n'akoma ku musa gw'omuggo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka bwe yalaba Nnaabagereka Esiteeri ng'ayimiridde wabweru, n'amusanyukira, n'amugololera omuggo gwe ogwa zaabu gwe yali akutte. Esiteeri n'asembera awali kabaka n'akwata ku musa gw'omuggo gwa kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka kabaka bwe yalaba Eseza kaddulubaale ng'ayimiridde mu luggya, kale n'aganja mu maaso ge: kabaka n'agololera Eseza omuggo ogwa zaabu ogwali mu mukono gwe. Awo Eseza n'asembera n'akoma ku musa gw'omuggo.