Esther 5:3 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’alyoka amubuuza nti, “Oyagala ki Nnabagereka Eseza? Era kiki ky’osaba? Onookiweebwa ne bwe kinaaba ekitundu ky’obwakabaka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'alyoka amugamba nti, “Oyagala ki, Nnaabagereka Eseza? Era kiki ky'osaba? Onookiweebwa ne bwe kinaaba ekitundu eky'obwakabaka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka n'amugamba nti: “Nnaabagereka Esiteeri, kiki ky'oyagala? Era kiki ky'osaba? Kijja kukuweebwa, ne bwe kinaaba ekimu ekyokubiri eky'obwakabaka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'alyoka amugamba nti Oyagala ki, kaddulubaale Eseza? era kiruwa kye weegayirira? onookiweebwa ne bwe kinaaba ekitundu ky'obwakabaka.