Esther 5:6 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe baali banywa wayini, Kabaka n’addamu n’abuuza Eseza nti, “Wegayirira ki era osaba ki? Kinaakuweebwa. Ne bwe kinaaba ekitundu ky’obwakabaka kinaakuweebwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'agamba Eseza nga batudde ku mbaga ey'omwenge nti, “Osaba ki? Kinaatuukirizibwa ne bwe kinaaba ekitundu eky'obwakabaka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baali banywa omwenge, kabaka n'agamba Esiteeri nti: “Kiki ky'osaba? Kijja kukuweebwa. Era kiki ky'oyagala? Kijja kutuukirizibwa, ne bwe kinaaba ekimu ekyokubiri eky'obwakabaka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'agamba Eseza nga batudde ku mbaga ey'omwenge nti Osaba ki? era kinaakukolerwa; era weegayirira ki? kinaatuukirizibwa ne bwe kinaaba ekitundu ky'obwakabaka.