Esther 5:8 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obanga ŋŋanze mu maaso ga Kabaka era ng’anaasiima okuddamu okusaba kwange, n’okutuukiriza kye neegayirira, nkusaba kabaka ne Kamani mujje enkya ku mbaga gye nnaabategekera. Olwo nno, nzija kuddamu ekibuuzo kya kabaka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
oba nga ŋŋanze mu maaso ga kabaka, era kabaka bw'anaasiima okumpa kye nsaba, n'okutuukiriza kye nneegayirira, kabaka ne Kamani bajje nate ku embaga gye nnaabafumbira, era enkya ndikola nga kabaka bw'agambye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
bw'oba ng'onkwatiddwa ekisa, ayi Ssaabasajja, era oba ng'osiima okumpa kye njagala, n'okutuukiriza kye nsaba, ayi Ssaabasajja, kale kkiriza ggwe ne Hamani okujja enkya ku kijjulo kye nnaabafumbira. Olwo enkya lwe nnaakola nga bw'ogambye, ayi Ssaabasajja.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
oba nga ŋŋanze mu maaso ga kabaka, era kabaka bw'anaasiima okumpa kye nsaba, n'okutuukiriza kye nneegayirira, kabaka ne Kamani bajje eri embaga gye ndibafumbira, era enkya ndikola nga kabaka bw'agambye.