Esther 5:9 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwo Kamani n’afuluma nga musanyufu era ng’ajaguza mu mwoyo. Naye bwe yalaba Moluddekaayi mu wankaaki wa Kabaka, nga tayimuse wadde okulaga nti amussaamu ekitiibwa, Kamani n’asunguwalira nnyo Moluddekaayi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kamani n'afuluma ku lunaku olwo ng'asanyuse era ng'ajaguzizza mu mwoyo. Naye Kamani bwe yalaba Moluddekaayi mu mulyango gwa kabaka, nga tayimirira wadde okumusegulira, n'ajjula obusungu eri Moluddekaayi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Hamani n'ava ku kijjulo nga musanyufu era ng'ajaguza mu mutima gwe. Naye bwe yasanga Moruddekaayi ng'ali ku mulyango gw'olubiri, n'atayimuka wadde okulaga akabonero konna akamussaamu ekitiibwa ng'ayitawo, Hamani n'amusunguwalira nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Kamani n'afuluma ku lunaku olwo ng'asanyuse era ng'ajaguzizza mu mwoyo: naye Kamani bwe yalaba Moluddekaayi mu mulyango gwa kabaka, nga tayimirira so nga tamusegulira, n'ajjula obusungu eri Moluddekaayi.