Esther 6:1 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekiro ekyo Kabaka teyayinza kwebaka; era n’alagira ekitabo eky’ebijjukizo eky’ebigambo ebya buli lunaku, bisomebwe mu maaso ge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mu kiro ekyo kabaka n'atayinza kwebaka; n'alagira okumuleetera ekitabo ekijjukiza eky'ebigambo ebikulu, ne babisomera mu maaso ga kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiro ekyo, kabaka n'abulwa otulo, n'alagira okumuleetera ekitabo eky'ebigwawo buli lunaku, ebigwana okujjukirwa, ne babimusomera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mu kiro ekyo kabaka n'atayinza kwebaka; n'alagira okuleeta ekitabo ekijjukiza eky'ebigambo ebya buli lunaku, ne babisomera mu maaso ga kabaka.