Esther 6:10 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kabaka n’alagira Kamani nti, “Yanguwa ofune ebyambalo n’embalaasi nga bw’oyogedde, okolere ddala bw’otyo Moluddekaayi Omuyudaaya atuula ku wankaaki wa Kabaka, ate waleme okubulako n’ekimu ku ebyo byonna by’oyogedde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'agamba Kamani nti, “Yanguwa oddire ebyambalo n'embalaasi nga bw'oyogedde, okolere ddala bw'otyo Moluddekaayi Omuyudaaya atuula ku mulyango gwa kabaka, waleme okubulako n'ekimu ku ebyo byonna by'oyogedde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka n'agamba Hamani nti: “Yanguwa oleete ebyambalo n'embalaasi, Moruddekaayi Omuyudaaya omuwe ekitiibwa ekyo. Buli kyonna ky'oyogedde, ky'oba omukolera ddala obutalekaayo n'ekimu. Ojja kumusanga ng'atudde ku mulyango gw'olubiri.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'agamba Kamani nti Yanguwa oddire ebyambalo n'embalaasi nga bw'oyogedde, okolere ddala bw'otyo Moluddekaayi Omuyudaaya atuula ku mulyango gwa kabaka: waleme okubulako n'ekimu ku ebyo byonna by'oyogedde.