Esther 6:11 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kamani n’addira ebyambalo, n’ayambaza Moluddekaayi, n’amwebagaza ku mbalaasi, era n’amukulembera mu nguudo z’ekibuga ng’alangirira mu maaso ge nti, “Bw’atyo bw’akoleddwa omusajja Kabaka gw’asiima okuwa ekitiibwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kamani n'addira ebyambalo n'embalaasi, n'ayambaza Moluddekaayi, n'amwebagaza okuyita mu luguudo olw'ekibuga, n'alangirira mu maaso ge nti, “Bw'atyo bw'anaakolebwa omusajja kabaka gw'asanyukira okumussaamu ekitiibwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Hamani n'aleeta ebyambalo n'embalaasi n'ayambaza Moruddekaayi, n'amwebagaza embalaasi, n'amukulembera okumuyisa mu kibuga wakati, ng'agenda alangirira nti: “Bw'atyo omuntu, kabaka gw'ayagala okuwa ekitiibwa, bw'agwanidde okuyisibwa!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Kamani n'addira ebyambalo n'embalaasi, n'ayambaza Moluddekaayi, n'amwambaza okuyita mu luguudo olw'ekibuga, n'alangirira mu maaso ge nti Bw'atyo bw'anaakolebwa omusajja kabaka gw'asanyukira okumussaamu ekitiibwa.