Esther 6:13 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ategeeza Zeresi mukazi we ne mikwano gye bonna byonna ebimutuuseeko. Awo abamuwa amagezi ne mukazi we Zeresi ne bamugamba nti, “Engeri Moluddekaayi gw’otanulidde okugwa mu maaso ge, nga bw’ava mu ggwanga ly’Abayudaaya, tojja kumusinga, era tolirema kuzikirira mu maaso ge.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kamani n'abuulira Zeresi mukazi we ne mikwano gye bonna byonna ebyamubaddeko. Awo abasajja be abagezi ne Zeresi mukazi we ne bamugamba nti, “Moluddekaayi nga bw'otandise okutoowazibwa mu maaso ge, oba nga wa ku zzadde lya Bayudaaya, tojja kumusinga, naawe tolirema kugwa mu maaso ge.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Hamani n'abuulira mukyala we Zeresi ne mikwano gye bonna, buli kintu ekyali kimutuuseeko. Awo abasajja abagezi, ne Zeresi mukyala we, ne bamugamba nti: “Moruddekaayi oyo, nga bw'otandise okutoowazibwa mu maaso ge, bw'aba nga wa mu lulyo lwa Bayudaaya, tojja kumusobola, wabula ojja kweyongera bweyongezi okutoowazibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Kamani n'abuulira Zeresi mukazi we ne mikwano gye bonna byonna ebyamubaddeko. Awo abasajja be abagezi ne Zeresi mukazi we ne bamugamba nti Moluddekaayi gw'otanulidde okugwa mu maaso ge, oba nga wa ku zzadde lya Bayudaaya, tojja kumusinga, naye tolirema kugwa mu maaso ge.