Esther 6:2 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne kisangibwa mu byafaayo nti Moluddekaayi yamanya olukwe lwa Bigusani ne Teresi babiri ku balaawe ba Kabaka abaali bakuuma omulyango nga baali bagezaako okutta Kabaka Akaswero, era nga Moluddekaayi ye yabaloopayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne basanga nga kyawandiikibwa nga Moluddekaayi bwe yabuulira kabaka olukwe olwakolebwa Bigusani ne Teresi, ababiri ku balaawe ba kabaka abamu ku abo abaakuumanga oluggi, abaagezaako okutemula kabaka Akaswero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne basanga nga kiwandiikiddwa, nga Moruddekaayi bwe yaloopa olukwe, olwakolebwa Bigitaana ne Teresi, ababiri ku balaawe ba kabaka abaggazi, abaagezaako okutemula Kabaka Ahaswero.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne basanga nga kiwandiikiddwa nga Moluddekaayi yabuulira ebigambo bya Bigusani ne Teresi, babiri ku balaawe ba kabaka ku abo abaakuumanga oluggi, abaagezaako okukwata kabaka Akaswero.