Esther 6:3 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’abuuza nti, “Kitiibwa ki na bukulu ki Moluddekaayi bye yaweebwa olw’ekyo?” Awo abaweereza ba Kabaka ne baddamu nti, “Tewali kintu kye yali aweereddwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'abuuza nti, “Kitiibwa ki na bukulu ki Moluddekaayi bye yaweebwa olw'ekyo?” Awo abaddu ba kabaka abaamuweerezanga ne boogera nti, “Tewali kintu na kimu kyali kimuweereddwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'abuuza nti: “Kitiibwa ki na bukulu ki Moruddekaayi bye yaweebwa olw'ekyo?” Awo abaweereza ba kabaka ne bamugamba nti: “Tewali kyali kimuweereddwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'ayogera nti Kitiibwa ki na bukulu ki Moluddekaayi bye yaweebwa olw'ekyo? Awo abaddu ba kabaka abaamuweerezanga ne boogera nti Tewali kintu kyaweereddwa.