Esther 6:4 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kabaka n’abuuza nti, “Ani ali mu luggya?” Mu kiseera ekyo Kamani yali yakayingira mu luggya olw’ebweru olw’oku lubiri lwa Kabaka, nga azze okwogera ne Kabaka ku kigambo eky’okuwanika Moluddekaayi ku kalabba Kamani ke yali amuzimbidde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'abuuza nti, “Ani ali mu luggya?” Kale Kamani yali atuuse mu luggya olw'ebweru olw'oku nnyumba ya kabaka, ng'azze okusaba kabaka amukkirize okuwanika Moluddekaayi ku kitindiro kye yali amusimbidde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'abuuza nti: “Ani ali mu luggya?” Mu kiseera ekyo Hamani yali yaakayingira mu luggya olw'ebweru olw'omu lubiri, ng'azze okusaba kabaka amuwe Moruddekaayi awanikibwe ku kalabba, ke yali amaze okukola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'ayogera nti Ani ali mu luggya? Kale Kamani yali atuuse mu luggya olw'ebweru olw'oku nnyumba ya labaka, okwogera ne kabaka okuwanika Moluddekaayi ku kitindiro kye yali amusimbidde.