Esther 6:8 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bamuleetere ebyambalo Kabaka bye yali ayambaddemu, n’embalaasi Kabaka gye yali yeebagadde atikkirweko engule ey’obwakabaka ku mutwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
baleete ebyambalo by'obwakabaka, kabaka by'ayambala, n'embalaasi kabaka gye yeebagala eri etikkirwako engule ey'obwakabaka ku mutwe gwayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
baleete ebyambalo bya kabaka bye yali ayambaddemu, n'embalaasi kabaka gye yali yeebagaddeko, era etikkiddwa ku mutwe engule ey'obwakabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
baleete ebyambalo bya kabaka, kabaka by'ayambala, n'embalaasi kabaka gye yeebagala eri etikkirwako ku mutwe engule ey'obwakabaka;