Esther 6:9 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyambalo n’embalaasi bikwasibwe omu ku bakungu kabaka basinga okuwa ekitiibwa, n’oluvannyuma omusajja oyo kabaka gw’ayagala okuwa ekitiibwa ayambazibwe ebyambalo ebyo era yeebagale n’embalaasi, era omulangira Kabaka gw’anaalonda amukulembere mu nguudo z’ekibuga ng’alangirira waggulu nti, ‘Bw’atyo bw’anaakolebwa omusajja Kabaka gw’asiima okuwa ekitiibwa!’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bakwase ebyambalo n'embalaasi omu ku bakungu ba kabaka abasinga ekitiibwa, bambaze ebyambalo ebyo omusajja kabaka gw'asanyukira okumussaamu ekitiibwa, era bamwebagaze embalaasi okuyita mu luguudo olw'ekibuga, era balangirire mu maaso ge nti, ‘Bw'atyo bw'anaakolebwa omusajja kabaka gw'asanyukira okumussaamu ekitiibwa.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyambalo ebyo n'embalaasi, bikwasibwe omu ku bakungu ba kabaka abasingira ddala ekitiibwa, amwambaze ebyambalo ebyo, era amukulembere ng'amwebagazza embalaasi, amuyise mu kibuga wakati, agende ng'alangirira nti: ‘Bw'atyo omuntu, kabaka gw'ayagala okuwa ekitiibwa, bw'agwanidde okuyisibwa!’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bawe ebyambalo n'embalaasi mu mukono gw'omu ku bakungu ba kabaka abasinga ekitiibwa, bambaze n'ebyo omusajja kabaka gw'asanyukira okumussaamu ekitiibwa, era bamwebagaze embalaasi okuyita mu luguudo olw'ekibuga, era balangirire mu maaso ge nti Bw'atyo bw'anaakolebwa omusajja kabaka gw'asanyukira okumussaamu ekitiibwa.