Esther 7:2 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwokubiri bwe baali banywa wayini Kabaka n’addamu n’abuuza Eseza nti, “Nnabagereka Eseza osaba ki? Onookiweebwa. Kiki kye weegayirira? Ne bwe kinaaba ekitundu ky’obwakabaka, kinaakuweebwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'agamba Eseza nate ku lunaku olwokubiri nga batudde ku mbaga ey'omwenge nti, “Kiki ky'osaba, Nnaabagereka Eseza, era onookiweebwa, era kiki kye weegayirira? Ne bwe kinaaba ekitundu eky'obwakabaka kinaatuukirizibwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
omulundi ogwokubiri. Bwe baali banywa omwenge, kabaka n'agamba Esiteeri nate nti: “Nnaabagereka Esiteeri, kiki ky'osaba? Kijja kukuweebwa. Era kiki ky'oyagala? Kijja kutuukirizibwa, ne bwe kinaaba ekimu ekyokubiri eky'obwakabaka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'agamba nate Eseza ku lunaku olw'okubiri nga batudde ku mbaga ey'omwenge nti Kiki ky'osaba, kaddulubaale Eseza, era onookiweebwa: era kiki kye weegayirira? ne bwe kinaaba ekitundu ky'obwakabaka kinaatuukirizibwa.