Esther 7:3 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Eseza n’addamu nti, “Obanga ŋŋanze mu maaso go, ayi Kabaka, era Oweekitiibwa bw’onoosiima, kino kye nsaba, mpeebwe obulamu bwange. Ate era n’abantu bange bawonye obulamu bwabwe. Kino kye nneegayirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Eseza kaddulubaale n'addamu n'ayogera nti, “Oba nga ŋŋanze mu maaso go, ayi kabaka, era kabaka bw'anaasiima, mpeebwe obulamu bwange, olw'okusaba kwange, era n'obw'abantu bange olw'okwegayirira kwange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Nnaabagereka Esiteeri n'agamba nti: “Bw'oba ng'onkwatiddwa ekisa, era bw'oba ng'osiimye, ayi Ssaabasajja, okumpa kye nsaba, nkusaba n'obuwombeefu mpeebwe obulamu bwange, era nkwegayirira, abantu bange baleme okuttibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Eseza kaddulubaale n'addamu n'ayogera nti Oba nga ŋŋanze mu maaso go, ai kabaka, era kabaka bw'anaasiima, mpeebwe obulamu bwange olw'okusaba kwange, n'abantu bange olw'okwegayirira kwange: