Esther 7:4 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nze n’abantu bange tutuundiddwa eri okuzikirizibwa, okuttibwa n’okubula. Wakiri singa tutuundiddwa okuba abaddu n’abakazi abaweereza, nandisirise ne sikuteganya newaakubadde nga omulabe teyandiyinzizza kuliwa kabaka bwe yandifiiriddwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nze n'abantu bange tutundiddwa, okuzikirizibwa, okuttibwa n'okumalibwawo ddala. Naye singa tutundiddwa okuba abaddu n'abazaana, nnandisirise, newakubadde ng'omulabe teyandiyinzizza kuliwa kabaka bye yandifiiriddwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze n'abantu bange tutundiddwa okuttibwa, okuzikirizibwa, n'okumalibwawo ddala. Singa kibadde kikoma ku kya kutundibwa okuba abaddu n'abazaana, nandisirise ne sikuteganya, newaakubadde ng'omulabe teyandiyinzizza kuliwa, kabaka bye yandifiiriddwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga tutundiddwa, nze n'abantu bange okuzikirizibwa, okuttibwa n'okubula. Naye singa tutundiddwa okuba abaddu n'abazaana, nandisirise, newakubadde ng'omulabe teyandiyinzizza kuliwa kabaka bye yandifiiriddwa.