Esther 7:5 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kabaka Akaswero n’abuuza Nnabagereka Eseza nti, “Ani era ali ludda wa oyo ayaŋŋanga okugezaako mu mutima gwe okukola bw’atyo?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka Akaswero n'alyoka abuuza Eseza kaddulubaale nti, “Ani, era ali ludda wa ayaŋŋaanga okugezaako mu mutima gwe okukola bw'atyo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Kabaka Ahaswero n'abuuza Nnaabagereka Esiteeri nti: “Ani ayinza okwaŋŋanga okukola ekintu ng'ekyo? Era omuntu oyo ali ludda wa?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka Akaswero n'alyoka ayogera n'agamba Eseza kaddulubaale nti Ani era ali ludda wa ayaŋŋanga okugezaako mu mutima gwe okukola bw'atyo?