Esther 7:6 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Eseza n’addamu nti, “Omulabe waffe, atukyawa, ye Kamani ono omubi.” Kamani n’atya nnyo mu maaso ga Kabaka ne Nnabagereka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Eseza n'ayogera nti, “Omulabe era atukyawa, ye Kamani ono omubi.” Awo Kamani n'atya nnyo mu maaso ga kabaka ne kaddulubaale.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Esiteeri n'agamba nti: “Omulabe waffe, atuyigganya, ye musajja ono Hamani omubi.” Hamani n'atya nnyo mu maaso ga kabaka ne Nnaabagereka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Eseza n'ayogera nti Omulabe era, atukyawa, Kamani ono omubi. Awo Kamani n'atya mu maaso ga kabaka ne kaddulubaale.