Esther 7:8 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’akomawo okuva mu nnimiro ey’omu lubiri n’ayingira mu kifo eky’embaga, n’asanga Kamani ng’agudde ku ntebe ey’olugalamiriro Eseza kwe yali. Kabaka ne yeekanga nnyo era n’akangula eddoboozi ng’agamba nti, “N’okukwata ayagala kukwatira Nnabagereka mu maaso gange wano mu nnyumba?” Kabaka bwe yali nga yakamala okwogera ekigambo ekyo, ne babikka ku maaso ga Kamani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'akomawo ng'ava mu lusuku olw'omu lubiri n'ayingira mu kifo eky'embaga ey'omwenge; kale Kamani ng'agudde ku kitanda Eseza kwe yali. Awo kabaka n'ayogera nti, “N'okukwata ayagala kukwatira kaddulubaale mu maaso gange mu nnyumba?” Ekigambo bwe kyava mu kamwa ka kabaka, ne babikka ku maaso ga Kamani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka n'akomawo ng'ava mu bulimiro bw'omu lubiri, n'ayingira mu kifo mwe yali anywera omwenge, n'asanga Hamani ng'agudde ku kitanda, Esiteeri kwe yali. Awo kabaka n'agamba nti: “Omusajja ono ayagala na kukwata Nnaabagereka wano mu maaso gange, mu lubiri lwange?” Olwayogera ekyo, ne babikka ku maaso ga Hamani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'akomawo ng'ava mu lusuku olw'omu lubiri n'ayingira mu kifo eky'embaga ey'omwenge; kale Kamani ng'agudde ku kitanda Eseza kwe yali. Awo kabaka n'ayogera nti N'okukwata anaakwatira kaddulubaale mu maaso gange mu nnyumba? Ekigambo nga kiva mu kamwa ka kabaka, ne babikka ku maaso ga Kamani.