Esther 7:9 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kalubona, omu ku balaawe abaali baweereza Kabaka n’ayogera nti, “Waliwo akalabba kumpi ne nnyumba ya Kamani obuwanvu bwako mita amakumi abiri mu ssatu ke yazimba okuttirako Moluddekaayi eyayogera n’awonya obulamu bwa Kabaka.” Kabaka n’agamba nti, “Mumuwanike okwo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kalubona, omu ku balaawe abaali mu maaso ga kabaka, n'ayogera nti, “Era, laba, ekitindiro, obuwanvu bwakyo emikono ataano (50), Kamani ky'akoledde Moluddekaayi, eyayogera ebigambo ebyawonya kabaka kiyimiridde mu nnyumba ya Kamani.” Kabaka n'ayogera nti, “Mumuwanike okwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Haruboona omu ku balaawe abaweereza kabaka n'agamba nti: “Era Hamani yabadde akoze n'akalabba mu maka ge ak'okuwanikako Moruddekaayi, eyawonya obulamu bwa Ssaabasajja. Obugulumivu bw'akalabba ako, bwa mita amakumi abiri mu bbiri n'ekitundu.” Kabaka n'alagira nti: “Mumuwanike okwo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Kalubona, omu ku balasawe abaali mu maaso ga kabaka, n'ayogera nti Era, laba, ekitindiro, obuwanvu bwakyo emikono amakumi ataano Kamani kyakoledde Moluddekaayi, eyayogera olwa kabaka ebirungi, kiyimiridde mu nnyumba ya Kamani. Kabaka n'ayogera nti Mumuwanike okwo.