Esther 8:11 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekiragiro kya Kabaka ky’awa Abayudaaya mu buli kibuga olukusa okukuŋŋaana n’okwekuuma; okuzikiriza, n’okutta, n’okusaanyaawo eggye lyonna ery’eggwanga lyonna oba essaza lyonna erinaabalumba, abakazi baabwe n’abaana baabwe abato, ate era n’okunyaga ebintu by’abalabe baabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era mu ezo kabaka n'alagira Abayudaaya abaali mu buli kibuga okukuŋŋaana, basobole okutaasa obulamu bwabwe, era basobole okuzikiriza, okutta, n'okumalawo obuyinza bwonna obw'abantu n'essaza abaagala okubalumba, abaana baabwe abato ne bakazi baabwe, n'okutwala ebintu byabwe okuba omunyago.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu bbaluwa ezo, kabaka n'akkiriza Abayudaaya abali mu buli kibuga okukuŋŋaana, basobole okutaasa obulamu bwabwe, era basobole okutta, okuzikiriza, n'okumalirawo ddala amagye gonna aga buli ggwanga oba ekitundu, agaba gabalumbye bo, ne bakazi baabwe, era n'abaana baabwe abato. Bayinza n'okwetwalira ebibadde ebintu eby'abalabe baabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era mu ezo kabaka n'alagira Abayudaaya abaali mu buli kibuga okukuŋŋaana n'okwesibira obulamu bwabwe okuzikiriza, okutta, n'okumalawo obuyinza bwonna obw'abantu n'essaza abaagala okubalumba, abaana baabwe abato ne bakazi baabwe, n'okutwala omunyago gwabwe okuba omuyiggo,