Esther 8:13 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyaggyibwa mu kiragiro ekyo byali bya kuba nga tteeka mu buli kitundu, era n’okumanyibwa eri abantu aba buli ggwanga, nti ku lunaku olwo Abayudaaya beeteekereteekere okulwanyisa abalabe baabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne balaalika amawanga gonna ebyaggibwa mu kiwandiiko, ekiragiro kirangirirwe mu buli ssaza, era Abayudaaya babe nga beeteekeddeteekedde olunaku olwo okuwalana eggwanga ku balabe baabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyali mu kirangiriro, byali bya kulangirirwa ng'etteeka mu buli kitundu, n'okumanyisibwa eri buli muntu, okusobozesa Abayudaaya okweteekateeka okuwoolera eggwanga ku balabe baabwe, ng'olunaku olwo lutuuse.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne balaalika amawanga gonna ebyaggibwa ku kiwandiike, ekiragiro kirangirirwe mu buli ssaza, era Abayudaaya babe nga beeteekeddeteekedde olunaku olwo okuwalana eggwanga ku balabe baabwe.