Esther 8:15 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Moluddekaayi n’ava mu maaso ga Kabaka ng’ayambadde ebyambalo bya Kabaka ebya kaniki n’ebyeru, era ng’atikkiddwa engule ennene eya zaabu, era ng’ayambadde omunagiro ogwa bafuta ennungi n’olugoye olw’effulungu. Ekibuga ekya Susani ne kisanyuka nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Moluddekaayi n'afuluma mu maaso ga kabaka ng'ayambadde ebyambalo bya kabaka ebya kaniki n'ebyeru, era ng'atikkidde engule ennene eya zaabu, era ng'ayambadde omunagiro ogwa bafuta ennungi n'olugoye olw'effulungu, awo abantu mu kibuga Susani ne bakuba emizira, ne boogerera waggulu olw'essanyu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Moruddekaayi n'ava ewa kabaka ng'ayambadde ebyambalo bya kabaka ebya bbululu n'ebyeru, ng'asuulidde omunagiro ogw'olugoye olwa kakobe, era ng'ayambadde n'engule eyeekitiibwa eya zaabu. Awo abantu mu nguudo z'ekibuga Susa ne bakuba emizira, ne baleekaana olw'essanyu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Moluddekaayi n'afuluma mu maaso ga kabaka ng'ayambadde ebyambalo bya kabaka ebya kaniki n'ebyeru, era ng'atikkidde engule ennene eya zaabu, era ng'ayambadde omunagiro ogwa bafuta ennungi n'olugoye olw'effulungu: awo ekibuga Susani ne kyogerera waggulu ne kisanyuka.