Esther 8:2 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’aggyako empeta ye gye yaggya ku Kamani n’agiwa Moluddekaayi, ate era ne Eseza n’afuula Moluddekaayi okuvunaanyizibwa ebintu ebyali ebya Kamani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'anaanuula empeta ye gy'aggye ku Kamani n'agiwa Moluddekaayi. Awo Eseza n'alonda Moluddekaayi okuba omukulu w'ennyumba ya Kamani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'anaanula empeta ye eriko akabonero, gye yaggya ku Hamani, n'agiwa Moruddekaayi. Esiteeri n'akwasa Moruddekaayi obuvunaanyizibwa obw'okulabirira ebintu byonna ebyali ebya Hamani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'anaanuula empeta ye gy'aggye ku Kamani n'agiwa Moluddekaayi. Awo Eseza n'ateeka Moluddekaayi okuba omukulu w'ennyumba ya Kamani.