Esther 8:3 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Eseza n’agenda ewa Kabaka nate ng’amwegayirira ng’agwa ku bigere bye n’okukaaba nga bw’akaaba, ng’amusaba akomye enteekateeka embi zonna eza Kamani Omwagaagi, n’enkwe ze yali asalidde Abayudaaya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Eseza n'ayogera nate olwokubiri mu maaso ga kabaka, n'avuunama awali ebigere bye n'amwegayirira ng'akaaba amaziga okuggyawo obubi bwonna Kamani Omwagaagi n'olukwe lwe yali asalidde Abayudaaya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Esiteeri n'addamu okwogera ne kabaka. N'avuunama wansi w'ebigere bya kabaka nga bw'akaaba amaziga, n'amwegayirira okuziyiza entegeka ey'akabi era n'olukwe, Hamani asibuka mu Agagi, bye yali akoledde Abayudaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Eseza n'ayogera nate olw'okubiri mu maaso ga kabaka, n'avuunama awali ebigere bye n'amwegayirira ng'akaaba amaziga okuggyawo obubi bwa Kamani Omwagaagi n'olukwe lwe lwe yali asalidde Abayudaaya.