Esther 8:5 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eseza n’ayogera nti, “Kabaka bw’anasiima, era obanga ŋŋaanze mu maaso ga Kabaka, nange obanga musanyusa, bawandiike ekiragiro okujjulula ebbaluwa Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi, ze yayiiya era n’awandiika okuzikiriza Abayudaaya mu bitundu byonna ebya kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogera nti, “Kabaka bw'anaasiima, era oba nga ŋŋanze mu maaso ge, n'ekigambo ekyo bw'olabanga kituufu mu maaso go, nange oba nga mmusanyusa, bawandiike ekirangiriro okumenyawo ebbaluwa Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi ze yawandiika, okuzikiriza Abayudaaya abali mu masaza gonna aga kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'agamba nti: “Bw'oba ng'osiima, ayi Ssaabasajja, era bw'oba ng'onkwatiddwa ekisa, era bw'olaba nga kituufu, era nga nsiimibwa mu maaso go, bawandiike ekirangiriro ekiziyiza ebbaluwa za Hamani mutabani wa Hammedata, asibuka mu Agagi, ze yawandiika okumalirawo ddala Abayudaaya bonna, abali mu bitundu byonna eby'obwakabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Kabaka bw'anaasiima, era oba nga ŋŋanze mu manso ge, n'ekigambo ekyo bwe kinaafaanana eky'ensonga mu maaso ga kabaka, nange oba nga mmusanyusa, bawandiike okujjulula ebbaluwa Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi ze yateesa, ze yawandiika okuzikiriza Abayudaaya abali mu masaza gonna aga kabaka: