Esther 8:7 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kabaka Akaswero n’agamba Nnabagereka Eseza ne Moluddekaayi Omuyudaaya nti, “Olw’okuba Kamani yali ayagala kuzikiriza Abayudaaya, ebintu bye mbiwadde Eseza, era n’okuwanikibwa awanikibbwa ku Kalabba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka Akaswero n'agamba Nnaabagereka Eseza ne Moluddekaayi Omuyudaaya nti, “Laba, mpadde Eseza ennyumba ya Kamani, naye bamuwanise ku kitindiro, kubanga yateeka omukono gwe ku Bayudaaya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Ahaswero n'agamba Nnaabagereka Esiteeri ne Moruddekaayi Omuyudaaya nti: “Kaakano mmaze okuwanika Hamani ku kalabba olw'okuyigganya Abayudaaya, era mpadde Esiteeri ebintu byonna ebibadde ebya Hamani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka Akaswero n'agamba Eseza kaddulubaale ne Moluddekaayi Omuyudaaya nti Laba, mpadde Eseza ennyumba ya Kamani, naye bamuwanise ku kitindiro, kubanga yateeka omukono gwe ku Bayudaaya.