Esther 8:9 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olw’amakumi abiri mu esatu mu mwezi ogwokusatu, gwe mwezi Sivaani abawandiisi ba Kabaka ne bayitibwa ne bawandiika byonna Moluddekaayi bye yalagira Abayudaaya, ebbaluwa n’eweerezebwa eri abaamasaza, ne bagavana n’abakungu abaafuganga mu bitundu ekikumi mu abiri mu omusanvu (127) okuva e Buyindi okutuusa ku Buwesiyopya. Ebiragiro by’awandiikibwa eri buli ssaza ng’empandiika yaalyo bwe yali, n’eri buli ggwanga ng’olulimi lwabwe bwe lwali, n’eri Abayudaaya mu mpandiika yaabwe era ne mu lulimi lwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mu biro ebyo ne bayita abawandiisi ba kabaka mu mwezi ogwokusatu, gwe mwezi gwa Sivaani, ku lunaku lwagwo olw'abiri mu ssatu (23) era byonna ne biwandiikibwa Moluddekaayi bye yalagira eri Abayudaaya n'eri abaamasaza, n'abaami abaafuganga n'abakulu b'amasaza abaaliwo okuva e Buyindi okutuusa ku Buwesiyopya, amasaza kikumi mu abiri mu musanvu (127), eri buli ssaza ng'empandiika yaalyo bwe yali, n'eri buli ggwanga ng'olulimi lwabwe bwe lwali, n'eri Abayudaaya ng'empandiika yaabwe bwe yali era ng'olulimi lwabwe bwe lwali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kino kyaliwo ku lunaku olw'amakumi abiri mu essatu olw'omwezi ogwokusatu, gwe mwezi gwa Sivaani. Moruddekaayi n'ayita abawandiisi ba kabaka, n'abawa ebigambo eby'okuwandiika mu bbaluwa ezaawandiikirwa Abayudaaya n'abaami bonna, abaali bafuga ebitundu ekikumi mu abiri mu omusanvu, okuva e Buyindi okutuuka e Kuusi. Ebbaluwa ne ziwandiikirwa buli kitundu mu lulimi lwakyo n'empandiika yaakyo, n'Abayudaaya ne bawandiikirwa mu lulimi lwabwe mu mpandiika yaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mu biro ebyo ne bayita abawandiisi ba kabaka mu mwezi ogw'okusatu, gwe mwezi Sivaani, ku lunaku lwagwo olw'amakumi abiri mu ssatu; era byonna ne biwandiikibwa Moluddekaayi bye yalagira eri Abayudaaya n'eri abaamasaza, n'abaami abaafuganga n'abakulu b'amasaza abaaliwo okuva e Buyindi okutuusa ku Buwesiyopya, amasaza kikumi mu abiri mu musanvu, eri buli ssaza ng'empandiika yaalyo bwe yali, n'eri buli ggwanga ng'olulimi lwabwe bwe lwali, n'eri Abayudaaya ng'empandiika yaabwe bwe yali era ng'olulimi lwabwe bwe lwali.