Esther 9:1 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olw’ekkumi n’ebiri gwe mwezi Adali, ekiragiro kya Kabaka lwe kyali kigenda okutuukirizibwa. Ku lunaku olwo abalabe b’Abayudaaya kwe baasuubirira okubafuga, naye ate Abayudaaya ne bafuga abo abaabakyawa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri, gwe mwezi gwa Adali, ku lunaku lwagwo olw'ekkumi n'essatu (13), ekiragiro kya kabaka n'etteeka lye bwe byali binaatera okutuukirizibwa, ku lunaku abalabe b'Abayudaaya kwe baasuubirira okubafugirako; naye ne kikyuka okubeevuunulira, Abayudaaya ne bawangula abo abaabakyawa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo olunaku olw'ekkumi n'essatu olw'omwezi ogw'ekkumi n'ebiri, gwe mwezi ogwa Adaari, olwali olw'okutuukiririzaako ekiragiro n'etteeka kabaka bye yawa, era abalabe b'Abayudaaya lwe baali basuubira okubawangulirako bwe lwatuuka, ebintu ne bikyuka okubeevuunulira, Abayudaaya ne bawangula abalabe baabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri, gwe mwezi Adali, ku lunaku lwagwo olw'ekkumi n'essatu, ekiragiro kya kabaka n'etteeka lye bwe byali binaatera okutuukirizibwa, ku lunaku abalabe b'Abayudaaya kwe baasuubirira okubafuga; naye ne kikyuka okubeevuunulira, Abayudaaya ne bafuga abo abaabakyawa;