Esther 9:12 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kabaka n’agamba Nnabagereka Eseza nti, “Abayudaaya basse era bazikirizza abasajja ebikumi bitaano, ate era ne batabani ba Kamani ekkumi nabo battiddwa. Kale kyenkana wa kye bakoze mu bitundu bya Kabaka ebirala? Kiki ky’osaba kaakano? Onookiweebwa. Era kiki kye weegayirira? Kale n’akyo kinaakolebwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'agamba Nnaabagereka Eseza nti, “Abayudaaya basse ne bazikirizza abasajja bitaano (500), mu kibuga ekikulu Susani ne batabani ba Kamani ekkumi (10). Kale kye bakoze mu masaza amalala aga kabaka kyenkana wa! Kiki nno ky'osaba? Era onookiweebwa, Oba kiki kye weegayirira nate? Era kinaakolebwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'agamba Nnaabagereka Esiteeri nti: “Mu kibuga ekikulu Susa, Abayudaaya basse ne bazikiriza abantu ebikumi bitaano, ne batabani ba Hamani ekkumi. Kale abantu bameka be basse mu matwale ga kabaka gonna! Kati kiki ky'osaba? Kijja kukuweebwa. Oba, kiki era ky'oyagala? Kijja kutuukirizibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'agamba Eseza kaddulubaale nti Abayudaaya basse bazikirizza abasajja ebikumi bitaano mu lubiri w’e Susani ne batabani ba Kamani ekkumi; kale kye bakoze mu masaza amalala aga kabaka kyenkana wa! Kiki nno ky'osaba? era onookiweebwa: oba kiki kye weegayirira nate? era kinaakolebwa.