Esther 9:13 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eseza n’addamu nti, “Kabaka bw’anaasiima, enkya Abayudaaya baweebwe olukusa okukola nga ekiragiro ekya leero bwe kibadde era emirambo gya batabani ba Kamani ekkumi giwanikibwe ku miti.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Eseza n'ayogera nti, “Kabaka bw'anaasiima, Abayudaaya abali mu Susani bakkirizibwe enkya okukola ng'ekiragiro ekyaleero bwe kibadde, era ne batabani ba Kamani ekkumi (10), bawanikibwe ku kitindiro.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Esiteeri n'addamu nti: “Bw'osiima, ayi Ssaabasajja, kkiriza Abayudaaya abali mu Susa, enkya baddemu okukola ekyo, kye bakkiriziddwa okukola olwaleero, n'emirambo gya batabani ba Hamani ekkumi, giwanikibwe ku kalabba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Eseza n'ayogera nti Kabaka bw'anaasiima, Abayudaaya abali mu Susani baweebwe okukola n'enkya ng'ekiragiro ekya leero bwe kibadde, era batabani ba Kamani ekkumi bawanikibwe ku kitindiro.