Esther 9:15 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ku lunaku olw’ekkumi n’enya mu mwezi ogwa Adali, Abayudaaya mu Susani ne beekuŋŋaanya, era ne batta abasajja ebikumi bisatu mu Susani, naye ne batakwata ku munyago.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abayudaaya abaali mu Susani ne bakuŋŋaanira ne ku lunaku olw'ekkumi n'ennya (14) olw'omwezi Adali, ne batta abasajja bisatu (300) mu Susani; naye ne batakwata ku munyago.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olwa Adaari, Abayudaaya abaali mu Susa ne baddamu okukuŋŋaana, ne batta abantu ebikumi bisatu mu Susa. Naye ne batanyaga kintu na kimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abayudaaya abaali mu Susani ne bakuŋŋaanira ne ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi Adali, ne batta abasajja ebikumi bisatu mu Susani; naye ne batassaako mukono gwabwe ku munyago.