Esther 9:16 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera kyekimu Abayudaaya abalala abaali mu bitundu bya Kabaka nabo ne bakuŋŋaana okwerwanirira, n’okufuna ne bafuna okuwummula eri abalabe baabwe. Ne batta emitwalo nsanvu mu etaano ku bo naye ne batakwata ku munyago.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abayudaaya abalala abaali mu masaza ga kabaka ne bakuŋŋaana okutaasa obulamu bwabwe, n'okwewonya eri abalabe baabwe, ne batta ku abo abaabakyawa emitwalo musanvu mu enkumi ttaano (75,000), naye ne batakwata ku munyago.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abayudaaya abalala abaali mu bitundu by'obwakabaka ne bakuŋŋaana, ne bataasa obulamu bwabwe ne beewonya abalabe baabwe. Mu abo abaabakyawa, ne battamu emitwalo musanvu mu enkumi ttaano. Naye ne batanyaga kintu na kimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abayudaaya abalala abaali mu masaza ga kabaka ne bakuŋŋaana ne beesibira obulamu bwabwe, ne baba n'okuwummula eri abalabe baabwe, ne batta ku bo abaabakyawa obukumi musanvu mu enkumi ttaano; naye ne batassaako mukono gwabwe ku munyago.