Esther 9:2 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayudaaya ne bakuŋŋaana mu bibuga byabwe okubuna ebitundu byonna ebya Kabaka Akaswero, okukwata abo abaali baagala okubaleetako obulabe, so tewaali muntu eyayaŋŋanga okubayinza, kubanga entiisa yali egudde ku bantu bonna abamawanga gonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abayudaaya ne bakuŋŋaana mu bibuga byabwe okubuna amasaza gonna aga kabaka Akaswero, okukwata abo abaali baagala okubakola obubi; so tewaali muntu eyayinza okubaziyiza; kubanga entiisa yaabwe yali egudde ku mawanga gonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu bifo ebibeeramu Abayudaaya, mu bibuga eby'omu matwale ga Kabaka Ahaswero, Abayudaaya ne bakuŋŋaana okulwanyisa buli muntu eyagezaako okubakolako akabi. Wonna wonna abantu ne batya Abayudaaya, era ne wataba ayinza kubalwanyisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo Abayudaaya ne bakuŋŋaana mu bibuga byabwe okubuna amasaza gonna aga kabaka Akaswero, okukwata abo abaali baagala okubakola obubi: so tewaali muntu eyayinza okubaziyiza; kubanga entiisa yaabwe yali egudde ku mawanga gonna.