Esther 9:20 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Moluddekaayi n’awandiika ebyabaawo byonna, era n’aweereza Abayudaaya bonna abaali mu bitundu byonna ebya Kabaka Akaswero ebbaluwa, mu matwale ag’okumpi n’agewala,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Moluddekaayi n'abiwandiika ebyo, n'aweereza Abayudaaya bonna abaali mu masaza gonna aga kabaka Akaswero, ab'okumpi n'ab'ewala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Moruddekaayi n'awandiika ebyo byonna ebyabaawo. Era Abayudaaya bonna abaali okumpi n'ewala mu matwale gonna aga Kabaka Ahaswero, n'abawandiikira ebbaluwa,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Moluddekaayi n'awandiika ebyo, n'aweereza ebbaluwa Abayudaaya bonna abaali mu masaza gonna aga kabaka Akaswero, ab'okumpi n'ab'ewala,