Esther 9:24 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi omulabe w’Abayudaaya bonna, yali asalidde Abayudaaya olukwe okubazikiriza, era ng’akubye akalulu Puli, okubasaanyaawo n’okubazikiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi omulabe w'Abayudaaya bonna yali ateesezza okuzikiriza Abayudaaya, era yali akubye Puli, bwe bululu, okubamalawo n'okubazikiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga Hamani mutabani wa Hammedata, asibuka mu Agagi era omulabe w'Abayudaaya bonna, yali abakoledde olukwe okubazikiriza, era yali akubisizza akalulu, ako ke kayitibwa Puri, okubamalawo n'okubazikiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi omulabe w'Abayudaaya bonna yali ateesezza eri Abayudaaya okubazikiriza, era yali akubye Puli, bwe bululu, okubamalawo n'okubazikiriza;