Esther 9:25 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Eseza bwe yakimanyisa Kabaka, Kabaka n’awa ekiragiro mu buwandiike nti olukwe olubi Kamani lwe yali asalidde Abayudaaya ludde ku mutwe gwe, era ye ne batabani be ne bawanikibwa ku kalabba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Eseza bwe yagenda mu maaso ga kabaka, kabaka n'awandiika ebbaluwa n'alagira nti olukwe lwe olubi lwe yali asalidde Abayudaaya ludde ku mutwe gwe ye; era ye ne batabani be bawanikibwe ku kitindiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Esiteeri bwe yagenda eri kabaka, kabaka n'awandiika ebbaluwa ng'alagira nti olukwe olwo nnamuzisa, Hamani lwe yali akoledde Abayudaaya, lumwekyusize, era ye ne batabani be bawanikibwe ku kalabba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye ekigambo bwe kyatuuka mu maaso ga kabaka n'alagiririra mu bbaluwa olukwe lwe olubi lwe yali asalidde Abayudaaya ludde ku mutwe gwe ye; era ye ne batabani be bawanikibwe ku kitindiro.