Esther 9:27 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayudaaya kyebaava balagira ne basuubiza, era ne basuubiriza ezzadde lyabwe n’abo bonna abanaabeegattangako, nti awatali kwekwasa nsonga yonna, bateekwa okukwatanga ennaku ezo zombi buli mwaka ng’ekiwandiiko kyazo bwe kyali era ng’ebiro byazo bwe byali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abayudaaya kye baava balagira ne basuubiza era ne basuubiriza n'ezzadde lyabwe n'abo bonna abaneegattanga nabo, kireme okuggwaawo, okukwatanga ennaku ezo zombi ng'ekiwandiiko kyazo bwe kyali era ng'ebiro byazo bwe byali ebyateekebwawo buli mwaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayudaaya kyebaava balifuula etteeka ku bo bennyini, ne ku zzadde lyabwe, ne ku buli alifuuka Omuyudaaya, nti ennaku ezo zombi zikuzibwenga buli mwaka awatali kwosa nga bwe kyawandiikibwa, era ng'ebiseera byazo bwe byategekebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abayudaaya kyebaava balagira ne basuubiza ne basuubiriza ezzadde lyabwe n'abo bonna abaneegattanga nabo, kireme okuggwaawo, okukwatanga ennaku ezo zombi ng'ekiwandiike kyazo bwe kyali era ng'ebiro byazo bwe byali ebyateekebwawo buli mwaka;