Esther 9:28 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ennaku ezo zijjukirwenga ku mirembe gyonna, na buli kika, na buli ssaza era na buli kibuga, era ennaku zino eza Pulimu, Abayudaaya tebalekangayo okuzijagulizaangako, wadde okuzeerabira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era okujjukiranga n'okukwatanga ennaku ezo mu mirembe gyonna, na buli kika, na buli ssaza na buli kibuga; era ennaku zino eza Pulimu zireme okuggwaawo mu Buyudaaya, newakubadde ekijjukizo kyazo kireme okwerabirwa eri ezzadde lyabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era baasalawo nti ennaku ezo zijjukirwenga era zikuzibwenga mu buli mulembe, ne mu buli maka ne mu buli kitundu ne mu buli kibuga, era ennaku ezo eza Purimu ziremenga kugyibwawo mu Buyudaaya, wadde okwerabirwa bazzukulu baabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era okujjukiranga n'okukwatanga ennaku ezo okubuna emirembe gyonna, na buli kika, na buli ssaza na buli kibuga; era ennaku zino eza Pulimu zireme okuggwaawo mu Buyudaaya, newakubadde ekijjukizo kyazo kireme okubula eri ezzadde lyabwe.