Esther 9:3 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abakungu bonna ab’ebitundu, n’abaamasaza, ne bagavana n’abasigire ba kabaka abaafuganga ne bayamba Abayudaaya, kubanga entiisa yali ebakutte olwa Moluddekaayi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abalangira bonna abaamasaza n'abasigire n'abaami abaafuganga n'abo abaakolanga omulimu gwa kabaka ne bayamba Abayudaaya; kubanga entiisa ya Moluddekaayi ng'ebaguddeko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaali mu bifo ebitongole: abafuzi n'abaami b'ebitundu, awamu n'abakungu ba kabaka, bonna abo ne batuuka n'okuyamba Abayudaaya, olw'okutya Moruddekaayi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abalangira bonna abaamasaza n'abasigire n'abaami abaafuganga n'abo abaakolanga omulimu gwa kabaka ne bayamba Abayudaaya; kubanga entiisa ya Moluddekaayi ng'ebaguddeko.