Esther 9:31 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’okuwa ebiragiro nti ennaku ezo eza Pulimu zikuumibwenga mu biro byazo nga Omuyudaaya Moluddekaayi ne Nnabagereka Eseza bwe baabalagira, era nga bwe beeyama bo bennyini n’ezzadde lyabwe okusinziira ku biseera byabwe bye baayitamu eby’okusiiba n’okukungubaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
okunyweza ennaku ezo eza Pulimu mu biro byazo ebyateekebwawo, nga Moluddekaayi Omuyudaaya ne Nnaabagereka Eseza bwe baabalagira, era nga bwe beeteekera bo bennyini n'ezzadde lyabwe mu bigambo eby'okusiiba n'okukaaba kwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yabawandiikirwa okukakasa ennaku ezo eza Purimu, mu biseera byazo ebyateekebwawo, nga Moruddekaayi Omuyudaaya ne Nnaabagereka Esiteeri bwe baabalagira, era nga bo be nnyini Abayudaaya bwe baali beeteereddewo ebiragiro eby'okusiiba, n'ebiseera eby'okukungubaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okunyweza ennaku ezo eza Pulimu mu biro byazo ebyateekebwawo, nga Moluddekaayi Omuyudaaya ne Eseza kaddulubaale bwe baabalagira, era nga bwe beeteekera bo bennyini n'ezzadde lyabwe mu bigambo eby'okusiiba n'okukaaba kwabwe.