Esther 9:4 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Moluddekaayi yali akulaakulanye mu lubiri, era n’ettutumu lye ne lyatiikirira okubuna ebitundu byonna, ate era ne yeeyongera amaanyi n’obuyinza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Moluddekaayi yali mukulu mu nnyumba ya kabaka, n'ettutumu lye ne lyatiikirira okubuna amasaza gonna; kubanga omusajja oyo Moluddekaayi yeeyongerayongeranga obukulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga Moruddekaayi yali muntu mukulu mu lubiri lwa kabaka, n'ettutumu lye nga libunye mu bitundu byonna eby'obwakabaka. Kubanga omusajja oyo Moruddekaayi, yeeyongeranga bweyongezi okuba n'obuyinza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Moluddekaayi yali mukulu mu nnyumba ya kabaka, n'ettutumu lye ne lyatiikirira okubuna amasaza gonna: kubanga omusajja oyo Moluddekaayi yeeyongerayongeranga.