Exodus 1:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abange, mugire tubakwate na bwegendereza sikulwa nga beeyongera obungi; olutalo nga lubadde lubaluseewo, ne beegatta ku balabe baffe, ne batulwanyisa ne bava mu nsi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ka tubasalire amagezi baleme kweyongera bungi. Kubanga singa wagwawo olutalo ne beegatta n’abalabe baffe, ne batulwanyisa, balituddukako ne bava mu nsi eno.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale tubasalire amagezi, baleme okweyongera obungi, olutalo bwe lulijja baleme okwegatta n'abalabe baffe okutulwanyisa era n'okututolokako.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale tubasalire amagezi, baleme kweyongera bungi, era singa wabaawo olutalo, baleme kwegatta na balabe baffe okutulwanyisa n'okutoloka mu nsi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale tubasalire amagezi; baleme okuba abangi, olutalo bwe lulijja baleme okwegatta n'abalabe baffe, okulwana naffe, okugolokoka okuva mu nsi.