Exodus 1:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ne babassaako bannampala b'akasanvu babamenye n'emirimu gyabwe egy'okwetikka emigugu. Bwe batyo ne bazimbira Faraawo ebibuga by'amawanika e Pitomu n'e Raamesesi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe batyo ne babateekako bannampala bababonyeebonye n’emirimu egy’obuwaze; ne bazimbira Falaawo ebibuga eby’amaterekero, Pisomu ne Lamusesi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyebaava babateekako ababakozesa okubabonyaabonya n'emirimu emizibu ennyo. Ne bazimbira Falaawo Pisomu ne Lamusesi, okuba ebibuga eby'amaterekero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyebaava babateekako abakozesa okubabonyaabonya n'emirimu emikakali, ne bazimbira kabaka ebibuga Pitomu ne Rameseesi, eby'okuterekangamu ebintu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyebaava babateekako abakoza okubabonyaabonya n'emigugu. Ne bamuzimbira Falaawo ebibuga eby'amaterekero, Pisomu ne Lamusesi.