Exodus 1:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka gye baakomya okutulugunyizibwa, gye baakomya n'okwala, n'okubuna. Abamisiri ne batya Abayisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye gye baakoma okutuntuzibwa, ate gye baakoma okweyongera obungi, ne basaasaana wonna. Abamisiri ne bakyawa abaana ba Isirayiri ate nga bwe babatya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Abamisiri gye baakoma okubonyaabonya abaana ba Isiraeri, n'abaana ba Isiraeri gye baakoma okweyongera obungi n'okubuna mu nsi eyo. Abamisiri ne banakuwala nnyo olw'abaana ba Isiraeri;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Abamisiri gye baakoma okubonyaabonya Abayisirayeli, n'Abayisirayeli gye baakoma okweyongera obungi n'okubuna mu nsi eyo. Abamisiri ne bakyawa Abayisirayeli,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nga bwe beeyongera okubabonyaabonya, bwe batyo bo bwe beeyongera obungi n'okubuna. Ne banakuwala olw'abaana ba Isiraeri.