Exodus 1:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne babaleetera ennyiike n'amalimo amakalubo ag'okusamba obudongo n'okubumba amataffaali n'emirimu egya buli kika egy'omu nnimiro n'emirala gyonna emikakali gye baabakozesangamu n'obukambwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obulamu bw’Abayisirayiri ne bubakaayirira nga bakozesebwa ng’abaddu; nga batabula ebbumba okukola amatoffaali; n’emirimu egya buli ngeri egikolebwa mu nnimiro. Mu mirimu egyo gyonna baabakozesanga n’amaanyi era n’obukambwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bakaluubiriza obulamu bwabwe n'emirimu emizibu, egy'okubumba amatoffaali, n'okukolanga n'amaanyi mu nsuku ne mu nnimiro zaabwe nga tebabasaasira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne bakalubya obulamu bwabwe nga babakozesa emirimu emikakali egy'okubumba amatoffaali, n'okukolanga mu nnimiro. Ne babakozesa byonna nga tebabasaasira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bakaayisa obulamu bwabwe mu buddu obuzibu, okutegana n'ebbumba n'amatoffaali, era n'obuddu bwonna obw'omu nsuku, obuddu bwonna bwe baabakoza n'amaanyi.